Ebibiina 3 bisanyeewo omuli n’ entebe, emeeza, embaawo, amabaati nekalonda omulala, wabula nga tewali muyizi akoseddwa.
Sentebe wakakiiko akagatta abasomesa n’abazadde be ssomero lino Omongin John agambye nti ab’ekkolero lya sukaali erya Kakira ne police ye Jinja babataasizza nnyo omuliro obutasanyaawo kizimbe kyonna.
Kiteeberezebwa nti omuliro gwandiba nga guvudde ku masanyalaze obwedda agavaako nga bwegaddako.
Bisakiddwa: Kirabira Fred