Police e Kisoro etandise okunoonyereza ku ngeri Omujaasi wa UPDF Samuel Kwesiga ow’emyaaka 32 gyeyesseemu, nga kigambibwa yeekubye masasi.
Omujaasi ono kigambibwa yasembyeeyo okulabwaako ne banne ng’alaba omupiira gwa liigi ya Bungereza eya English Premier league , wakati wa Manchestet United ne Arsenal , Arsenal yaguwangudde goolo 1-0.
Okwazzeeyo gyasula kwekutegeeza banne nga bweyabadde awulira obukoowu oluvannyuma lw’okuwangulwa omupiira, bwebukedde banne bawulidde ssasi nga livuga, era olutuuse ku kayumba mweyasuze nga kaggale nebalingiza mu ddirisa, amaaso bagukubye ku munnabwe ng’afudde.
Omwogezi wa poliisi e Kigezi Elly Mate, agambye nti omugenzi akwasiddwa UPDF, ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis