Omubiri gw’omugenzi Rhoda Kalema gukomezeddwawo okuva e Kenya – CBS FM

Date:

Omubiri gw’Omugenzi hon. Can. Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema gukomezeddwawo mu Uganda okuva e Kenya gyeyafiira.

Government ya Uganda yerina obuvunaanyizibwa ku nteekateeka zonna ez’okuziika, era nga wakuziikibwa mu bitiibwa by’eggwanga.

Okusinziira ku  ntekateeka ezaafulumiziddwa: Ku Thursday nga 7 August, 2025 omugenzi waakusabirwa mu Lutikko e Namirembe ku ssaawa ssatu ku maky.

Ku lunaku lwe lumu Ogwoto gwakukumibwa mu maka gÓmugenzi e Muyenga  Plot  860 William W Kalema Drive ku ssaawa kuminabbiri ezÓlweggulo.

Wagenda kubaawo okusula mu Lumbe e Kiboga nga 8 August, 2025.

Wakuziikibwa nga 9 August, ku ssaawa munaana ez’olweggulo.

Hon.Canon Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema afiiridde mu Kibuga  Nairobi ekya Kenya mu kiro ekikeesezza olwaleero nga 03 August,2025,  gyeyabadde atwaliddwa okwongera okujjanjabwa.

Rhoda Kalema yazaalibwa nga 19 May,1929, naafa nga 03 August,2025 gy’emyaka 96 gyafiiriddeko.

Omugenzi Hon Rhoda Nakibuuka Nsibirwa Kalema yoomu ku baana beyali Katikkiro wa Buganda omugenzi Owek Martin Luther Nsibirwa, era ng’abadde Ssenga w’omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika Owek. Robert Waggwa Nsibirwa.

Rhoda  Kalema abadde mu nnabyabufuzi omuggundiivu mu Uganda era nga ye mubaka omukyala eyasookera ddala okukiika mu parliament, , abadde yebuuzibwako ensonga, yaliko omubaka wa parliament owa Kiboga, yaliko minister w’ebyobusuubuzi,omulwanirizi w’edddembe, era nga n’olutalo olwanunula Uganda okuva mu government ezaaliwo yalwenyigiramu butereevu.

Yoomu ku bannayuganda abaatandiika ekibiina ki Uganda national patriotic Movement ekyeyubula nekifuuka NRM.

Bisakiddwa: Kato Denis

Share post:

Popular

Also Read

Spice Diana Confiscates Event Equipment Over Unpaid Performance Balance

Singer Spice Diana, real name Namukwaya Hajara Diana, last...

The Alchemist’s Gavel: Industrialisation, value addition, and Uganda’s economic awakening

By Asiimwe Jonard “The person who eats the grain before...

Vibe House debuts in Kampala – Xclusive News

Kampala’s ever-evolving social scene has a new heartbeat, and...

Feffe Bussi Hunts Next Rap Star as HipHop Ku Ntiko Concert Nears, Winners to Bag UGX 3M, 1.5M and 500K

Celebrated Hip-Hop rapper Feffe Bussi, real name Frank Mukiiza,...