Akulira akakiiko ka bamusiga ensimbi mu maka g’obwa President aka State House Investors Protection Unit Col.Edith Nakalema agambye amaanyi bagatadde kukuziba emiwaatwa egibadde gyeyambisibwa ebitongole bya government ebyenjawulo, nebiremesa bamusigansimbi babeera bagala okutandikawo amakolero n’emirimu egyenjawulo mu Uganda.
Nakalema agamba nti abakozi ba government abamu baali bakikola mu bugenderevu okussaawo emiziziko egiremesa ba musigansimbi, nga bagala basooke babawe enguzi.
Col. Nakalema agamba nti obuvunanyizibwa bw’ebitongole bino, kuwereza bantu omuli ne bamusiga ensiimbi mu bwangu okusitula ebyenfuna, wabula abakulu abamu mu wofiisi za government babakaandaliriza mu bugenderevu, nategeezza nti akakiiko kakulembera bino byonna kagezezzaako okubirwanyisa.
Col. Edith Nakalema abadde asisinkanye omubaka wa Bungereza mu Uganda Ambassador Lisa Chesney ku wofiisi z’akakiiko ka State House Investors Protection Unit (SHIPU) mu Kampala, okwogera ku ngeri y’okutumbula eby’obusuubuzi wakati wa Uganda ne Bungereza nokunyweza enkolagana eriwo.
Omubaka wa Bungereza mu Uganda Ambassador Lisa Chesney agambye nti bagala okukolera wamu okusitula ebyenfuna by’ ggwanga lino, nokulaba nga Uganda etuuka mu mawanga agali yadde yaddeko.
Ambassador Lisa Chesney yebazizza Nakalema ne government olw’okusaawo omutimbagano, bamusiga ensimbi kwebayita okutuusa ensonga zabwe, nti gwayambako n’okulwanyisa enguzi eyakolebwa nga ku bamusiga ensimbi abatali bamu.