Olukiiko lwa NRM olw’okuntikko olwakalondebwa abasiingako bapya – CBS FM

Date:

Ssentebe wa NRM era President wa Uganda  Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa agumizza ba memba ba NRM abaawanguddwa mu kalulu k’okulonda abakiise b’olukiiko olw’okuntikko olukulira ekibiina, okubeera abakkakkamu n’abasuubiza nti ewabadde emivuyo gyakunoonyerezebwako.

Ssentebe Yoweri Kaguta Museveni n’omumyukawe Alhaji Moses Kigongo baayiseewo nga tebavuganyiziddwa.

Abakulembeze abalala bakubiddwako akalulu ak’okusiimba mu mugongo mu ttabamiruka wa NRM abadde e Kololo.

Sipiika wa Parliament Anita Annet Among (Mupya) awangudde Rebecca Kadaga abaddeko ku kifo ky’omukyala amyuka ssentebe.

David Calvin Echodu ( mupya) alondeddwa okukiikirira obuvanjuba bwa Uganda, afunye obululu  5,211 byebitundu 99.5%, awangudde omubaka omukyala owe Namutumba  Mariam Naigaga afunye obululu 253.

John Baptist Loki yawangudde e Kalamoja, afunye obululu 3,694 bye bitundu 81.1%.

Obukiika kkono buwangiddwa Hamson Denis Obua (Mupya) afunye obululu 3,591 ebitundu 67.4%, awangudde Minister Sam Engola ne Dan Kidega.

Obugwanjuba bwa Uganda buwanguddwa Jornad Asiimwe Akiiki (mupya) n’obululu 4,044, amezza minister Dr. Chris Baryomunsi afunye 2,303.

Salim Uhuru (Mupya) awangudde mu Kampala, n’obululu  2,411 amezze Singh Katongole afunye 1,375.

Ebitundu bya Buganda biwanguddwa minister wa Microfinnce Haruna Kasolo (Mupya) afunye obululu 4,194 awangudde Moses Karangwa Kariisa afunye 3,981, ate Godfrey Kiwanda Suubi yawanduse mu lwokaano ku ssaawa esembayo.#

Share post:

Popular

Also Read

Ugandan Parliament Honors Late Kenyan Political Giant Raila Odinga

KAMPALA, Uganda (AP) — Ugandan lawmakers paid tribute Monday...

Ugandan Legislators Renew Calls to Address Teachers’ Pay Disparities

KAMPALA — Ugandan lawmakers are urging the government...

Museveni Urges Patience on Public Pay Raises, Citing Infrastructure as Priority

ADJUMANI – President Yoweri Museveni reaffirmed his government’s commitment...

Museveni Pledges Renewed Cattle Restocking Program for Uganda’s Acholi Region

PABBO — President Yoweri Museveni has reaffirmed his government’s...