Olubiri lwa Ssaabasajja Kabaka olw’e lulondeddwa ng’ekimu ku bifo 10 ebisiinze okwettanirwa abalambuzi mu nsi yonna.
Mu nteekateeka eno,Obwakabaka bwa Buganda buweereddwa engule eyitibwa TripAdvisor Traveller’s Choice Awards, ewebwayo omukutu gwa “TripAdvisor” ogukola okulambika abalambuzi mu Nsi yonna engeri y’okwetegekeramu olugendo lw’okulambula.
Olubiri lw’e Mmemgo luteekeddwa ku lukalala lw’ebifo 10 eby’obulambuzi mu Nsi yonna, ebisinze okwettanirwa abalambuzi mu mwaka guno 2025.

Ebifo ebirala ebyettaniddwa kuliko; Pyramids e Egypt, Pyramids e Sudan, omugga Kiyira, Ifrel Tower mu Bufaransa , Big Ben e London, Olubiri lwa Lisbon Portugal, Olubiri lwe Marakesh Morocco, olubiri lwa King we Thailand, .
Akulira omukutu gwa TripAdvisor, Kristen Dalton ayozaayozezza Obwakabaka bwa Buganda olw’obuwanguzi buno bw’agambye nti bwesigamye nnyo ku nsonga abalambuzi zebazze banokolayo, naddala eky’abalambuzi okubudaabudibwa obulungi nga bazze okulambula olubiri lw’e Mmengo, ebyafaayo byalwo, abalambuza okumanya kyebakola n’ebirala.
Bw’abadde ayanjula Engule eno eri Obuganda, Ssenkulu w’ekitpngole ky’Obulambuzi ki Buganda Heritage and Tourism Board, Omuk. Najib Nsubuga Ssekikubo, agambye nti Buganda ngagga mu buwangwa n’ennono zaayo, era emboozi z’obuwangwa ezinyumizibwa abalambuzi bangi bagenda baziteenda.

Emboozi ezikwata ku mmere ennansi, okukomaga olubugo, omweso, emizannyo emiganda, enneeyisa y’Omuganda mu maka, ebintu ebirabwako omuli emmotoka Rolls Royce eri mu lubiri, empuku, Twekobe, n’ebirala.
Mw. Nsubuga Najib agamba nti essira kati bagenda kukulissa ku ngeri y’okukozesa technology okutumbula eby’obulambuzi ebiri mu Lubiri n’ebitundu ebirala.#