Mu kwetegekera okujjukira emyaka 32 egy’amatikkirwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, wategekeddwawo okusaba okwenjawulo mu masiinzizo g’abagoberezi ba Kristu okwetoloola Buganda, okwebaza Katonda olw’Ebirungi byawadde Empologoma ya Buganda.
Okusaba kw’amatikkirwa kwakubaawo nga 31 July,2025 ku muzikiti e Kibuli.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga aweerezza obubaka eri abagoberezi ba kristu mu kusaba kwa Sunday mu masiinzizo egenjawulo.
Mu kitambiro kya Mmisa ku lutikko e Lubaga, Obwakabaka bukiikiriddwa ministet avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka ebweru wa Buganda n’Okulambula kwa Ssaabasajja Owek Joseph Kawuki.
Minister wa Bulungibwansi, Obutondebwensi , Amazzi n’ekikula ky’Abantu Owek Mariam Mayanja Nassejje ali Namirembe.
Owek Isreal Kazibwe Kitooke minister w’Amawulire ,Okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka ali ke Eklesia y’Ab’Orthodox e Namungoona.
Abaami ba Ssaabasajja Kabaka ku mutendera gw’Amasaza nabo basindikiddwa mu masinzizo agenjawulo okweetaba mu kusabira Ssaabasajja n’Okweebaza Katonda olwebirungi byaakoledde Obuganda.
Ssebwaana akulembera essaza Busiro wakukiikirira Obwakabaka mu kanisa ya Mukono Church of Uganda.
E Kiyinda Mityana waliyo omwami wa Ssaabasajja akulembera essaza Kyaddondo Kaggo Ahmed Magandaazi.
Owek Nakate Chotildah Kikomeko ali ku Lutikko e Kitovu mu Buddu.
Owek Christopher Bwanika ali ku Lutikko ya Kasana Luweero mu Bulemeezi.
Owek Sylvia Mazzi ali Lugazi n’Abakiise abalala bangi mu masinzizo agenjawulo.
Ku lunaku lwa Sabbiiti waabaddewo okusabira Ssaabasajja okwenjawulo mu Seventh Day Adventist Church okwetoloola Obuganda bwonna, nga e Kireka Omusumba wa district ye Kireka Daniel Ssennuuni yeyakulembeddemu entekateeka eno, neyeebaza Masomooji olw’Okwaagala ennyo abantube.
Mu bikujjuko bino abantu ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo bakyagenda mu maaso n’Okulaajanira Omutonzi ayongere Kabaka obulamu Obulungi, ayongere okukulaakulanya Obwakabaka bwe.
Nnyininsi Musota Sseggwanga Ekiryosserulanda Ekimaamidde Obuganda yatikkirwa e Naggalabi Buddo nga 31 July,1993, kati gyemyaka 32 ng’alamula Obuganda.#