Emikolo egy’okusabira eyali omulamuzi wa kooti ensukkulumu Prof.George Wilson Kanyeihamba giyindidde ku kanisa ya All Saints Nakasero, gyetabiddwako ebikonge ebyenjawulo omuli ba minister, abalamuzimu, ababaka ba parliamrnt n’abantu abalala bangi.
Ssaabalabirizi w’ekanisa.ya Uganda Dr. Stephen Kazimba Mugalu yaakulembeddemu okusaba, era ayogedde ku mugenzi ng’abadde ow’amazima mu byayogera nebyakkiririzaamu, era ng’abadde mulwanirizi wa ssemateeka w’eggwanga.
Ssaabalamuzi Alphonse Owinyi Dollo y’akulembeddemmu essiga eddamuzi, amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa yakiikiridde parliament, ba minister n’abakulembeze abalala bangi.
Prof. George Wilson Kanyeihamba yafa nga 14 July,202, agendakuziikibwa nga 29 July,2025 mu maka ge e Buziga mu Kampala.
Yazaalibwa nga 11 August,1939, ku kyalo Kinaba mu district ye Kinkizi esaangibwa mu kitundu kye Kigezi.
Yasomera ku Kigezi High School, Busoga College Mwiri ne Norwich City College.
Yafuna bachelor’s degree mu by’amateeka okuva mu Portsmouth University, ne Doctorate of laws okuva mu Warwick University mu Bungereza.
Prof. Kanyeihamba yaliko omulamuzi wa kooti ensukkulumu okumala emyaka 12, wakati wa 1997 okutuuka mu 2009.
Yali ssentebe w’akakiiko akaabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995.
Mu 2006, yalondebwa okutuula ku kooti ya Africa ewuliriza emisango gy’okulinnyirira eddembe ly’obuntu ( African court on human and People’s Rights).