Okulonda akamyufu ka NRM ak’ababaka ba Parliament – abalonzi bakukkuluma – CBS FM

Date:

Okuyiwa omusaayi, okweyogerera ebisongovu, abantu obutajjumbira kulonda, ebikozesebwa mu kulonda okutuusibwa ekikeerezi, okutiisatiisa abalonzi, n’amannya g’abamu obutalabikira ku alijesita n’ebirala bye bimu ku binokoddwayo abalonzi, nti byefuze akalulu k’akamyufu ka NRM, ak’okulonda ababaka ba parliament abanaakwatira ekibiina bendera mu kulonda kwa bonna okwa 2026.

Okulonda okutegekeddwa nga 17 July,2025, kwatandise ssaawa ssatu ezookumakya okutuuka ku ssaawa munaana ez’olweggulo, nga kubadde kwakusiimba mu mugongo gw’abesiimbyewo oba ebifaananyi byabwe.

Abamu ku babaka ababaddeyo mu parliament, wabula nga babadde baasala eddiiro okuva mu bibiina ebiri ku ludda oluvuganya nebesogga NRM, basuuliddwa ettale.

Omubaka Dr.Twaha Kagabo eyalondebwa mu kalulu ka 2021 mu kibiina kya NUP wabula oluvannyuma neyesogga NRM, awanguddwa Hajji Muyanja Mbabaali.

Mu kibuga ky’E Ntebe; abakulira akakiiko kebyokulonda aka NRM mu Kibuga kino, balangiridde munnamateeka Shaka Stephen Gashaija ku buwanguzi, okukwatira ekibiina  Bendera ku kifo ky’omubaka wa Munisipaali eyo.

Paul Wasike akulira akakiiko ka NRM akebyokulonda mu kibuga Ntebe, alangiridde Gashaija nga afunye obululu 4,175, n’addirirwa Najjemba Jane Scholastica Baguma, abadde sentebbe wa Division A n’obululu 467, ate Jovia Namara nakwata eky’okusatu n’obululu 192.

Omugatte abalonzi mu kibuga Ntebbe babadde 4,834, wadde nga mu kitabo ky’abalonzi ekya Yellow Book mulimu abalonzi 21,507.

Ate Ku kifo kyomubaka omukyala owe Wakiso, eyaliko RDC we Ntebe ne Wakiso; Nalongo Rose Kirabira y’awangudde banne abalala 2, n’obululu 2,808.

Nnaalongo Rose Kirabira adiriddwa Namakula Radhidiya n’obululu 1,040 ate Kakunda Beth Kayesu, afunye obululu 362.

Mu district ye Mityana ebifo bisatu mwemubadde okulonda, nga okusinga embiranye eri mu Mityana North eno abavuganya bali lyanda ku lyanda, nga mu kiseera kino kizibu okumanya anaatwala.

E Kasambya town Council mu district ye Mubende sentebe wa NRM bimusobedde, erinnya lye bweritalabikidde mu alijesita y’ekyalo.

E Ssembabule eby’okwerinda bibadde ggulugulu, kyekimu ku bitundu ebiyiiriddwamu ab’ebyokwerinda amagye ne police naddala mu kitundu ekye Lwemiyaga, era ng’eno abalonzi abamu bakubiddwa emiggo, n’abalala bakwatiddwa balabiddwako nga bakasukibwa mu kabangali y’abebyokwerinda.

 

Ate Okulonda mu Nakawa West kutambudde bulungi, wadde ng’abalonzi babadde bamuswaba.

Share post:

Popular

Also Read

Police Roll Out Security and Traffic Plan for MP Nominations in Kampala

Kampala Metropolitan Police have announced a series of security...

Museveni Pledges to Recruit 1,400 Health Inspectors to Curb Drug Theft

The National Resistance Movement (NRM) Presidential Candidate, General Yoweri...

Jose Chameleone: I Love Bobi Wine as a Brother, But I Belong to NRM

Musician Jose Chameleone has confessed that he doesn’t wish...

Alien Skin Battles for Fangone Forest Name as Businessman Claims Trademark Rights

Musician Alien Skin found himself in a legal battle...