Okujaguza Amatikkirwa ga Kabaka Mutebi aga 32 ku muzikiti e Kibuli – CBS FM

Date:

Abantu ba Ssaabasajja Kabaka bakuηηaanidde ku muzikiti e Kibuli, okujjukira bwejiweze emyaka 32 bukyanga attikkirwa e Naggalabi Buddo.

Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obuzanyiddwa ku katambi n’okulagibwa ku ntimbe za TV.

Empologoma ya Buganda yebazizza Mikwano gya Buganda mu Uganda ne mu nsi endala, abawagidde emirimu gy’Obwakabaka.

 

Omuteregga agambye nti Akaseera ketuyingidde ak’ebyobufuzi gwe gumu ku miwaatwa eminene abalabe ba Buganda mwebatera okuyitira, naasaba abantu be babeere bagumu era abantu ab’engeri eyo babeekengere.

“Tubasaba, nga bulijjo munyiikire okwekolera mmwe mwennyini okusinga okukaabirira n’okulindirira ababaggya ku mulamwa nga babawa obunyeebwa”

 

 

Okusaala kukulembeddwamu Supreme Mufti Muhammad Shaban Ggalabuzi.

Sheik Yasin Abbas Kiweewa abadde omubuulizi ow’enjawulo ku matikkira ga Kabaka aga 32

Sheik Yasin Abbas Kiweewa mu kubuulira kwe, agambye nti amatikkira ga Kabaka kabonero akawa essuubi eri abantu ba Buganda ne Uganda yonna okutwaliza awamu.

Agambye nti Allah y’alonda abantu abesoonga era naabasukkulumya ku balala.

Sheik Kiweewa agambye nti abantu abangi abeyiye e Kibuli okujaguza emyaka 32, kabonero akalaga nti abantu basiimu eri Obuganda, era basaanye batwale ebikolwa ebirungi mu maaso.

Omulangira David Kintu Wasajja, Omulangira Richard Ssemakookiro, n’omumbejja Gertrude Nnaabanakulya

 

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ebisomooza bibadde bingi mu myaka gino 32, naye nazaamu obuganda essuubi nti wadde bingi ebibaddewo,  eky’omukisa ekisiinga Kabaka waali.

“Waliwo abaagala tukwate ku ttama, tuggwemu amaanyi tuyenjebuka, naye byonna tujja kubivuunuka.

Tunywerere ku Kabaka waffe Namunswa, era njagala okubakakasa tujjakuba bawanguzi” Katikkiro Charles Peter Mayiga

 

Abamu ku bataka abakulu ab’obusolya ku mukolo gw’amatikkira ga Kabaka aga 32 ku muzikiti e Kibuli

Jajja w’Obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’enkolagana eriwo wakati w’Obwakabaka n’obukulembeze bw’Obusiraamu e Kibuli, nagamba nti wadde nga waaliwo abaali bagala buveewo, nti naye Ssaabasajja yabatebuka.

Akubirizza abantu bonna mu Uganda okujjumbira okulonda mu kalulu ka bonna akajja aka 2026, ate era balonde abantu abalina embavu abanaasobola okukulembera eggwanga obulungi.

Omulangira Nakibinge era akubirizza abantu abalina ebisaanyizo n’ensa besimbewo ku bifo byonna, baleme kuleka bantu bakiboggwe kubakulembera.

Abamu ku ba district Khadi abetabye ku mukolo gw’Amatikkira ga Kabaka aga 32 ku muzikiti e Kibuli
Abaaliko ba Katikkiro ba Buganda, okuli Owek. Mulwanyammuli Ssemogerere, Owek.Dan Muliika n’Owek. J.B Walusimbi
Abamu ku ba Bishop abetabye ku matikkira ga Kabaka ku muzikiti e Kibuli
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’alamusa ku president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu

Share post:

Popular

Also Read

Uganda, Kenya Ink Agreement to Boost Trade Through Standards

KAMPALA, Uganda — The Uganda National Bureau of Standards...

Dr. Francisca Akala Appointed World Bank Country Manager for Uganda

KAMPALA, Uganda— The World Bank has named Nigerian health...

Lydia Jazmine Reveals Past Crush on Gift Ov Kaddo During Early Music Days

Songstress Lydia Jazmine has reflected on crushing on fellow...

Levixone, Desire Luzinda kick off wedding meetings today ahead of wedding ceremony

Gospel musicians Levixone and Desire Luzinda have today, 1...
Verified by MonsterInsights