Obwakabaka bwa Buganda buvumiridde ebikolwa ebyefujjo ebyalabikira mu mupiira gw’empaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025 , Buvuma bweyali ettunka ne Bugerere ku lwomukaaga nga 09 August,2025.
Owek Ssalongo Robert Sserwanga minister w’ebyemizannyo abavubuka n’ebitone, agenze e Buvuma gyasisinkanidde abakulira ebyokwerinda, abatuuze nabakulembeze ku mutendera gyonna, okuzuula ekyaviiraako obusiwuufu bw’empisa, obwaleka abawagizi bangi nga balumiziddwa.
Efujjo lino lyaliwo nga omupiira guno guwedde goolo 1-1, era abawagizi bamasaza gombiriri balwanira mu makubo, bangi balumizibwa, emmotoka zayononebwa n’ebirala.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Buvuma, Mbuubi Micheal Lubowa, agambye nti bagenda kwongera okukolera ewamu n’abebyokwerinda okumalawo obusiiwuufu bw’empisa obw’engeri eyo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe