Mbalamusizza mwenna!
Twebaza Katonda waffe atuwadde obulamu, obusobozi, n’okutukuuma okutuuka leero nga tujjukira amatikkira aga 32.
Tusiima n’okwenyumiriza ennyo mu bantu ba Buganda abali mu byalo, mu bibuga, amasaza era n’abo abali ebweru wa Buganda ne Uganda, wakati mu bisoomooza ebingi ebiriwo ensangi zino, mulwanye masajja okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo.
Tubeebaza bulijjo olw’okubeera abavumu n’okulemera ku nsonga ezikwata ku Bwakabaka bwaffe ekiseera kyonna, tusaba nti temuddirira, era mwewale abo bonna abagufudde omuze okwerimbika mu mateeka agatali matuufu okugezaako okunafuya obwakabaka, kino tukirabye emirundi mingi.
Abakulembeze mu Buganda ku mitendera gyonna tubeebaza, mubadde banywevu ddala mu mbeera zonna ezitwolekedde.
Mikwano gyaffe mu Uganda ne mu nsi endala muwagidde emirimu gy’Obwakabaka tubeebaza nnyo olw’okukolagana naffe.
Akaseera ketuyingidde ak’ebyobufuzi gwe gumu ku miwaatwa eminene abalabe ba Buganda mwebatera okuyitira, mbasaba mubeere bagumu era abantu ab’engeri eyo mubeekengere.
Tubasaba, nga bulijjo munyiikire okwekolera mmwe mwennyini okusinga okukaabirira n’okulindirira ababaggya ku mulamwa nga babawa obunyeebwa.
Mbakwasa Katonda n’ekiseera kyetulimu!
Amiina.