Akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina kya NUP kongezaayo ekiseera ky’okuwandiisa abanaakikwatira bendera mu kalulu ka 2026, oluvannyuma lw’abamu ku ba memba okusalawo okukyusa ebifo naddala ababadde basooka okusaba okuvuganya ku bifo ky’ababaka ba parliament, nebalaba nga bayiinza okusiinga okubeera n’amaanyi mu government ez’ebitundu.
Akakiiko akakulira okulonda mu NUP kaali kassaawo nsalesale wa leero mga 25 July,2025, wabula kati kasazeewo okumwongezaayo wakiri wiiki namba.
Mu kiseera kino abantu omutwalo 11,000 bebakasaayo empapula z’okuvuganya ku bifo ebyenjawulo.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Harriet Chemutai abadde mu lukuηaana lwabanna mawulire olutudde ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule, n’ategeeza nti bagala okunsusula nakwo kutandike wiiki ejja nga batandika n’agabala ebifo by’obukulembeze bwa government ez’e bitundu balyoke badde ku babaka ba parliament.
Johnmary Ssebuufu kamisona ku kakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kino ekya NUP agambye nti abantu abesimbyeewo ku bifo ebyenjawulo nabo babayambyeko okwogeraganya, abamu nebalekera abalala.#