NUP eggyeyo empapula za Kyagulanyi Ssentamu okuvuganya ku bwa president bwa Uganda 2026 – CBS FM

Date:

President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yegasse ku bantu abalala abasoba mu 120 abaakaggyayo empapula okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu kalulu akajja aka 2026.

Abakulembeze ba NUP okubadde Ssaabawandiisi David Lewis Lubongoya, omuwanika wa NUP Katana, Omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi era nga y’akulira oludda oluvuganya mu parliament n’abalala bebaggyeyo empapula mu kakiiko k’ebyokulonda aka The Electoral Commission of Uganda ku Jinja Road mu Kampala ku lwa president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri ng’avuganya ku ntebbe ya president wa Uganda, era ng’okusinziira ku byalangirirwa akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga, Kyagulanyi yakwata kyakubiri mu kalulu ka 2021, akaawangulwa munna NRM Yoweri Kaguta Museveni naye eyaggyayo edda empapula okuvuganya mu kalulu akaddako aka 2026.

Mu ngeri yeemu DP nayo eggyeyo empapula za Nobert Mao, okuvuganya ku bwa president.

 

Empapula za DP ziggyiddwayo Ssaabawandiisi wa DP Dr.Gerald Siranda.#

Share post:

Popular

Also Read

Omujaasi wa UPDF yekubye essasi naafiirawo – kigambibwa nti byandibaamu eby’okuwangulwa omupiira – CBS FM

  Police e Kisoro etandise okunoonyereza ku ngeri Omujaasi wa...

Uganda 3 – 3 SouthAfrica mu mpaka za CHAN 2024

Uganda 3 – 3 SouthAfrica mu mpaka za CHAN...

Aroma Music Defends Her Fashion Choices, Claims She Has the Best Body in the Industry

Musician Aroma has opened up on why she dresses...
Verified by MonsterInsights