Ng’emu ku nteekateeka y’okukuza amatikkirwa ga Nnyinsi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, Minister w’amawulire , okukunga abantu era omwogezi w’Obwakavaka owek, Isreal Kizibwe Kitooke atongozza ekiyitirirwa ekyaddaabiriziddwa ku luguudo Nneebalamye Mayanja, ng’Oluguudo luno omulangira abeera agenda okulya Eηηoma ya Buganda kwayitira okutuuka e Nnaggalabi Buddo gy’atikkirirwa.
Ekiyitirirwa ekiddaabiriziddwa kyekiggulawo Nneebalamye Mayanja, nga kisaangibwa mu muluka gwa SsAabawaali Sseguku mu ggombolola ya SsaAbagabo Lufuka mu ssaza Kyadondo.
Kyadabiriziddwa aba Nican Resort wamu ne ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika.
Owek. Nassejje Mariam Nkalubo Mayanja, minister wa bulungi bwansi , Obutonde bwensi , amazzi n’ekikula ky’abantu asoomozozeza abantu abawangaalira ku luguudo luno okukuuma ekitiibwa kyalwo ngabasimbako emiti ginaansangwa naddala emivule.
Mathias Kayija Ssaabagabo Lufuka wamu neeyaliko omwami w’eggombolola eno Emmanuel Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene basiimye omutetegga olw’amAanyi gaAtadde mu nsonga yabulungi bwansi.