Minister omubeezi ow’amayumba n’ebibuga Persis Namuganza awangudde omusango gwe yawaaba mu akakiiko akuwulira emisango egy’ava mu kamyufu k’ekibiina kya NRM, era nekasazaamu obuwanguzi bwa Emmanuel Maganda.
Akakiiko kakkiriziganyizza ne minister Namuganza nti okulonda mu Bukono county mu district ye Namutumba nti kwalimu emivuyo mingi, nekalagira okulonda kuddibwemu mu gombolola y’e Kibaale ne Kibaale town council, mu bbanga lya nnaku 21 okuva ensala lweweereddwa nga 20 August,2025.#