Eyaliko Minister ow’emirimu egyenjawulo mu wofiisi ya Ssaabaminister wa Uganda, wakati wa 2012 ne 2015 Mary Busingye Karooro Okurutu afudde nga 11 August,2025.
Mary Karooro Okurut afiriidde mu Ddwaliro e Nairobi mu Kenya.
Karooro abadde muwandiisi wa bitabo, era awandiise ebitabo ebiwerako ebikozesebwa mu kusoma essomo lya Literature mu masomero, munnabyanjigiriza era Omulwanrizi w’enkulakulana, era nga yaliko omubaka wa parliament owa district ye Bushenyi.
Awandiise obutabo obuwerako okuli: The Curse of the Sacred Cow, The Invisible Weevil n’obulala.
Minister Omubeezi owamawulire n’okuluηamya eggwanga Godfrey Baluku Kabyanga ategezeezza nti eggwanga lifiriddwa omuntu owenkizo era abadde alafubana Uganda okugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius