Ttiimu y’essaza Gomba egudde maliri ne Buddu goolo 1-1 mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, mu mupiira ogubaddeko n’obugombe mu kisaawe e Kabulasoke.
Buddu yesoose okuteeba nga eyita mu Dasan Mubiru mu kitindu ekisooka, olwo Gomba eteebye nga eyita mu Robert Ssewanyana mu peneti mu kitundu eky’okubiri.
Emipiira emirala, Buluuli ekubye Ssese goolo 2-1 mu kisaawe e Migyera ate nga Busujju erumbye Busiro omwayo e Ssentema n’egikubirayo goolo 1-0.
Buweekula ekubye Mawokota goolo 1-0 e Mubende, ate Bugerere ekubye Kyadondo goolo 3-2 e Mukono.
Kkooki nayo ekubye Ssingo goolo 2-1 e Kyotera, era nga bwe buwanguzi bwayo obusookedde ddala mu mpaka z’amasaza ez’omwaka guno 2025.
Kabula nayo erumbye Mawogola omwayo n’egikubirayo goolo 1-0.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe