Kawooya Steven omuwagizi wa Police ne Arsenal, saako Ssekaggo Anorld omuwagizi wa Man U ne Busiro bebayiseewo okwesogga empaka ez’akamalirizo eza Bbingwa.
Bbingwa yetabwamu abamanyi bwiino akwata ku by’emizannyo ebyenjawulo mu Uganda n’ebweru, nga baddamu ebibuuzo ebyenjawulo.
Bbingwa ayindira ku CBS Emmanduso 89.2, Radio ey’abavubuka ab’omulembe Omutebi, okuva ku ssaawa nnya okutuuka ku mukaaga ez’ekiro.
Fayinolo zigenda kunyumira Kasana mu Nyendo Masaka mu ssaza Buddu, nga 9 August,2025.
Zakubaako omupiira ogw’ebigere wakati w’abakozi ba CBS n’abasuubuzi mu Buddu, ne ttiimu endala.#