Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Olukiiko lw’Embuga ya Kisekwa olukulirwa Omuk. Dr. Ssonko Robert Kanaakuloopa-Kisekwa.
Kamalabyonna agambye nti olukiiko luno alulinamu essuubi ddene okugonjoola enkaayana zonna ez’ebika ezitwalibwayo, mu bwangu era mu bwesimbu olwo Buganda etereere.
“Ebika bwebitereera, ne Buganda eba etereera” – Katikkiro Mayiga
Mu ngeri yeemu, Katikkiro asabye abazzukulu mu bika okwewala omuze gw’okutwala ensonga z’ebika mu kkooti enzungu, wabula zonna zitwalibwe mu Mbuga entuufu zigonjoolwe.
Asabye abajulira mu Mbuga ya Ssalambwa obutagufuula musono, okujjako nga beetegerezza bulungi ddala nga balina ensonga ez’essimba okujulirako.
Agambye nti n’ekkooti enkulu mu Uganda yalamula dda nti ensonga z’ebika zirina kutawululirwa mu bika kubanga bebategeera obutuufu bwazo.
Minisita w’Obuwanga n’Ennono Owek. Dr. Anthony Wamala asabye olukiiko luno okunoonyereza mu bwegendereza ku nsonga zebaba bakolako era bazikoleko mu bwesimbu, enjuyi ezinoonya obw’enkanya zireme kubuusabuusa mu nnamula yaabwe.
Asabye n’abakulu okukuuma ebyafaayo mu buwandiike.
Dr. Ssonko, Kisekwa yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’okusiima n’abeesiga okukola omulimu gw’okugonjoola enkaayana mu bika, n’awera nti baatandikirawo okugukola mu bwerufu, neyeebaza n’olukiiko olwawummula olw’okubatemera empaangi ennungi nabo kwebaayongerereza.
Embuga ya Kisekwa eriko Abakungu musanvu;
Omuk. Dr. Ssonko Robert Kanaakuloopa-Kisekwa, Omuk. Salim Makeera Omumyuka wa Kisekwa, Omuk. Lubega Ssebende Omuwandiisi, Omuk. Andrew Kibaya mukiise, Omuk. Dan Kyagaba mukiise, Omuk. Samuel Walusimbi mukiise ne Omuk. Jamil Ssewannyana naye mukiise.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K