Katikkiro Mayiga atongozza alipoota y’eddembe ly’obuntu mu Wakiso ey’omulundi ogwo 5 – ensonga y’abakuuma ddembe abakwata abantu nga tebagoberera mateeka eri ku mwanjo

Date:

Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga ayambalidde abakuuma ddembe abasusizza okutyoboola eddembe ly’obuntu, nga bannansi bakwattibwa mungeri ettagoberera mateeka .

Katikkiro abadde atongoza alipoota y’akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka district ye Wakiso ey’omulundi ogwokutaano,  emikolo  gyibadde ku kitebe kya district.

Alipoota eno eraze nti abantu abasoba mu 360,000 bebaagobebwa ku ttaka mu mwaka ogwayita 2024, atte nebatafuna kuyambibwa.

 

Emisango 89 gyegyaloopebwa nga gyekuusa ku kutulugunyizibwa nga kwesigama ku kikula ky’abantu , obutabanguko mu maka emisango 14,073 gyejaalopwa.

 

Ensonga endala ezirabikidde mu alipoota eno mwemuli obutali bwenkanya mu program za government naddala eya Parish Development Model,  emyooga n’emirala,  ng’abantu bangi naddala abaliko obulemu bakaluubirizibwa okuzifunamu.

Ensonga z’abaami obutafa ku baana nazo zinokoddwayo mu alipoota y’akakiiko n’ensonga endala nyingi

Katikkiro Mayiga asuubizza nti Obwakabaka bugenda kukolera wamu n’obukiiko obulwanirira eddembe ly’obuntu, era   nasaba district ezitanassa munkola bukiiko buno okulowooza ku nsonga eno mu bwangu .

Dr. Livingstone Ssewanyana akulira ekitongole ekirwanirira eddembe lyobuntu ekya Foundation For Human Rights Initiative asabye buli gwekikwatako  okuyambako ku nsonga y’abantu abawambibwa naddala mu kiseera kino ekya Kalulu.

Ssewannyana agambye nti ekityoboola ddembe lya buntu ekyaliwo mu kalulu ka 2021, tekirina kuddamu kulwabwako mu kalulu akajja aka 2026, ne mu biseera by’eggwanga ebirala byonna okutwalira awamu.

Elly Kasirye Ssentebe w’akakiiko keddembe ly’obuntu mu Wakiso anokoddeyo ezimu kunsonga enkulu akakiiko zekakozeeko mutaasa abatuuze .

Ssentebe wÁkakiiko kéddembe lyÓbuntu ku district ye Wakiso Elly Kasirye asabye Obwakabaka bwa Buganda okukwatira awamu nÁkakiiko kano okulaba ng’ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu birwanyisibwa.

Ssentebe wa district ye Wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika agamba nti ebimu kubiviriddeko bannansi okutulugunyizibwa yensonga yabannauganda okwesamba ennimi zabwe nga buli biwandiiko bikolebwa mu nnimi ngwiira, nebalema okutegeera obulungi ensonga ezibakwatako obutereevu.

 

Betty Ethel Naluyima omubaka omukyala owa district ye Wakiso agamba nti obunkeeke obusukiridde eri bannabyabufuzi nga bakwatibwa nebasibwa mu makomera buli kiseera, kiviriddeko bangi okwenyiwa ebyobufuzi .

 

Mungeri yemu ye Omwami wakabaka atwala essaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza akubiriza banna Wakiso okwetegereza obulungi abakulembeze bebagenda okulonda mu kalulu akajja 2026, baleme kulondesa kinyumu.

 

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’akwasa Tonny Ngabo ebbaluwa emusiima olw’okusaka amawulire agalwanirira eddembe ly’obuntu

Akakiiko kano aka Wakiso District Human Rights Committee  mu ngeri eyenjawulo kasiimye ssentebe wa district ye Wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika wamu ne munnamawulire wa CBS Emmanduso Tonny Evans Ngabo  olw’obuwereza obusukkulumye mukulwanirira eddembe lyobuntu, era baweereddwa ebbaluwa ezibasiima#

Share post:

Popular

Also Read

NRM Tribunal urged to dismiss Hudu Hussein’s petition over primary election

The National Resistance Movement (NRM) Election Disputes Tribunal has...

Rukungiri NRM Registrar Granted Bail Over Electoral Malpractice Charges – Xclusive UG.

RUKUNGIRI- The Rukungiri Chief Magistrate’s Court has granted bail...

Abavubuka bategese ekyoto ku mbuga y’essaza Kyadondo – okukuza amatikkirwa ga Ssaabasajja Kabaka aga 32 – CBS FM

  Abavubuka mu Buganda naddala abayizi b’amasomero bajjumbidde ekyoto ekitegekeddwa...

Abazannyi ba Uganda Cranes 25 abagenda okuzannya CHAN 2025 basuunsuddwa – CBS FM

Abatendesi ba ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere egenda okuvuganya mu...
Verified by MonsterInsights