Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abavubuka mu bibiina by’ebyobufuzi okweteekateeka obulungi nga bettanira okumanya obulungi ensonga z’eggwanga, n’ebifo by’obukulembeze byebalina okutandikirako okunyweza emirandira gyabwe.
Abadde asisinkanye bannakibiina ki JEEMA mu Bulange e Mengo.
Katikkiro ageteezezza nti Uganda ekyalina Obwetaavu bwabakulembeze naddala Abavubuka abalina ensa, era abalafuubanira enfuga ennungi etali yakukyamuukirira, etali yakinyumu, okugujubanira ebitiibwa ne sente.
Katikkiro mu ngeri eyenjawulo asabye abakulembeze Abavubuka, okubaako abakulembeze bebalabirako , kyokka naavumirira enkola y’Okugulirira abalonzi etaliimu ka buntu nakwagala ggwanga, okuggyako okwekkusa bokka.
Minister w’Amawulire Okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke,asabye Abavubuka mu JEEMA babeere benkanya, boolese obwerufu n’Enkulaakulana ya Uganda yonna ,awatali kuleka Muntu yenna Mabega mu nkulaakulana, n’Okwagala Obwakabaka.
Ssabawandiisi wa JEEMA Muhammad Kateregga, ategeezezza nti Ennyiingo okwatandikirwa ekibiina kino ziwalirizza nnyo Abavubuka okwegatta ku JEEMA, nga ekisinga ku kyebetaaga bwe Bwenkanya.
Kateregga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’Okusiima nakubiriza abantu be okwettanira okusoma.
Kateregga agasseeko nti Ekibiina ki JEEMA obutafaananako bibiina birala, kyaafuna ettaka eddene Obulungi kwekigenda Okusimba Emmwaanyi, nga akamu ku bubonero akooleka obuwulize eri buli ntekateeka za Ssaabasajja Kabaka ne government ye.
Bisakiddwa: Kato Denis