Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu government eya wakati, abakiikirira ebitundu bya Buganda okusoosowaza ensonga zÓbwakabaka.
Katikkiro abadde asisinkanye minister wa Micro finance Haji Kyeyune Haruna Kasolo,akiise embuga okwanjula enteekaterka ze ez’okuvuganya ku kifo kyÓmumyuuka wa Ssentebe wa NRM mu Buganda.
Katikkiro ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka talina kibiina kya byabufuzi kyasibira Bweru.
Katikkiro asabye abakulembeze mu bibiina byÓbufuzi abesimbyewo ku bifo ebyenjawulo, okuvuganga nga tebayiwa Musaayi, okwewala entalo mu Kulonda, kuba kino kigenda kuviirako eddembe lyÓbuntu okulinnyirirwa, nÓbulamu bwÁbantu okukosebwa.
Awadde abavubuka amagezi okuva mu by’obufuzi ebyekinyumu, wabula bettanire ebifo ebyenkizo ebisalawo, okuviira ddala ku byalo balwaanire obulungi omugabo gwabwe.
Minister Kyeyune Haruna Kasolo yebazizza Abantu mu Buganda olwÓbuwagizi eri NRM, nasuubiza okukulembeza ensonga z’Obwakabaka ssinga ayitamu ku kifo ekyo.
Ssentebe wa district ye Luweero eyawummula Alhajji Abdul Nadduli, agambye nti alina essuubi mu Minister Kasolo, kuba ensonga zÓbwakabaka ne Uganda eyaawamu azimanyi bulungi.#
Bisakiddwa: Kato Denis