Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abali mu kisaawe ky’Okuyimba n’Okusanyusa abantu okufuna okufuna Obukugu obusukkulumu mu byebakola basobole okwekuumira ku mutindo.
Katikkiro abadde asisinkanye Omuyimbi Maureen Nantume mu Bulange e Mengo.
Aganbye agambye nti okukuza Ebitone kiyambako nnyo bannyinibyo okulwanyisa Obwavu, kuba baba babikozesa okugatta Omutindo ku bye bakola, n’Okuyitimusa Ensi yaabwe.

Katikkiro asabye Abayimbi okukola ennyo batereke ensimbi n’Okuzisiga, balwaanyise embeera embi ey’Obwaavu, Obubalumbagana nga bannyuse Okuyimba.

Minister w’Abavubuka Ebyemizannyo n’Ebitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo, yebazizza Nantume olwokukola obutaweera n’Okukuuma Omutindo gw’okuyimba.
Maureen Nantume mu bubakabwe yebazizza abantu ba Uganda ne Uganda yonna okumubeererawo, era nasuubiza okubaweesa ekitiibwa.
Maureen Nantume alinayo ekivvulu kyatuumye ” MY STORY ” nga 21 November, 2025 ku Serena Hotel mu Kampala, era nga akiise Embuga n’Ettu.
Bisakiddwa: Kato Denis