Kampuni ya Quality Chemical Industries Limited etandise okuziimba ekkolero erigenda okukola eddagala eriweweeza obulwadde bwa Nnalubiri( Sickle Cell)
Ssentebe wa kampuni eno munnarotary Emmanuel Katongole agambye nti enteekateeka eno ey’eddagala ly’obulwadde bwa Nalubiri n’eryakafuba byebigenda okussibwako essira omwaka ogujja.
Emmanuel Katongole agambye nti abaana abasiinga okutawaanyizibwa obulwadde bwa Nalubiri munsi yonna, ebitundu 80% bali mu Africa.
Kampuni eno yakoze amagoba ga buwumbi 267, omwaka oguyise 2024/2025, ezaanjuliddwa bannyiniyo, mu lukungaana lwabwe olumalako omwaka, n’okuteekateeka omuggya.
Ebirala ebisaliddwawo kwekugaziya akatale k’eddagala erikolebwa kampuni eno naddala mu mawanga ga Africa, okusomesa abantu okubeera abalamu, okutuusa eddagala ku balyetaaga ate ku bbeeyi essoboka buli muntu.
Quality Chemicals Industries Limited ekola ebika by’eddqgala eryenjawulo, okuli ery’omusujja gw’ensiri, eriweweeza ku ssiriimu n’eddagala eddala.#