Kampuni 20 zezaakaweebwa licence okutandika okulima enjaga esobola okukolebwamu eddagala mu Uganda – CBS FM

Date:

Government ya Uganda yakawa liyisinsi eri kampuni  20 okulima enjaga yekika kya cannabis mu bitundu by’eggwange ebyenjawulo

Ministry yensonga zomunda mu ggwanga yevunaanyizibwa okugaba liyisinsi zino nga ekolera wamu ne ministry y’ebyobulamu

Kampuni esembeeyo okuweebwa layisinsi egenda kulima enjagala eno eya cannabis mu bitundu okuli Kisweramindu, Lwampanga ebisangibwa mu district ye Nakasongola saako Muwanya e Bulemeezi ekisangibwa mu Luweero.

Minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Severino Kahinda Otafiire akakasiza nti government ezze ewa kampuni zino liyisinsi okulima enjaga Eno eyekika kya cannabis

Minister Otafiire wabula alabudde nti enjaga erimibwa SSI yakutunda eri bannansi wabula yakugezesa okulaba oba Uganda esobola okulima enjaga ennungi eyetaagibwa okukola eddagala mu makolero agakola eddagala mu Uganda nebweru waayo.

Minister Otafiire agambye nti enjaga Eno eyekika Kya cannabis esiinga kulimibwa mu Buganda mu bitundu ebiriraanye ennyanja Nalubaale .

Mu August 2023 parliament ya Uganda yayisa etteeka eriwera ebiralagalagala erya Narcotics and Psychotropics substances controll Act 2023,  neekifuula kyabuwaze nti enjaga yokka ekkirizibwa okulima yeeyo egenda okukozesebwa mu makolero g’eddagala, ate abagirima balina kusoooka kuweebwa lukusa okuva eri government.#

Share post:

Popular

Also Read

Parliament Passes Bill to Professionalize Teaching Sector

KAMPALA, Uganda — Parliament passed the National Teachers Bill,...

Deputy Speaker Tayebwa Reassures Diplomats On Sovereignty Bill Consultations

KAMPALA, Uganda — Deputy Speaker of Parliament Thomas Tayebwa...

State House Unit Launches Global Webinar Series To Boost Diaspora Engagement

KAMPALA, Uganda — Remittance inflows from Uganda’s diaspora reached...