Government ya Uganda yakawa liyisinsi eri kampuni 20 okulima enjaga yekika kya cannabis mu bitundu by’eggwange ebyenjawulo
Ministry yensonga zomunda mu ggwanga yevunaanyizibwa okugaba liyisinsi zino nga ekolera wamu ne ministry y’ebyobulamu
Kampuni esembeeyo okuweebwa layisinsi egenda kulima enjagala eno eya cannabis mu bitundu okuli Kisweramindu, Lwampanga ebisangibwa mu district ye Nakasongola saako Muwanya e Bulemeezi ekisangibwa mu Luweero.
Minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Severino Kahinda Otafiire akakasiza nti government ezze ewa kampuni zino liyisinsi okulima enjaga Eno eyekika kya cannabis
Minister Otafiire wabula alabudde nti enjaga erimibwa SSI yakutunda eri bannansi wabula yakugezesa okulaba oba Uganda esobola okulima enjaga ennungi eyetaagibwa okukola eddagala mu makolero agakola eddagala mu Uganda nebweru waayo.
Minister Otafiire agambye nti enjaga Eno eyekika Kya cannabis esiinga kulimibwa mu Buganda mu bitundu ebiriraanye ennyanja Nalubaale .
Mu August 2023 parliament ya Uganda yayisa etteeka eriwera ebiralagalagala erya Narcotics and Psychotropics substances controll Act 2023, neekifuula kyabuwaze nti enjaga yokka ekkirizibwa okulima yeeyo egenda okukozesebwa mu makolero g’eddagala, ate abagirima balina kusoooka kuweebwa lukusa okuva eri government.#