Site icon UG Trendz

Kaliisoliiso Dinner Concert 2025 etongozeddwa – yakubaawo nga 03 October,2025 – CBS FM

Ekijjulo kya Kaliisoliiso dinner Concert eky’omwaka guno 2025 kitongozeddwa, kyakubaawo nga 3 October ku Hotel Africana mu Kampala.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yaakitongozza ku mukolo ogubadde  mu Bulange e Mengo.

Katikkiro yeebazizza nnyo abakulira CBS olw’okuleeta enkola eno egenderera okuyamba n’okutaasa obulamu bw’abantu.

Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala Paul Ssemogerere yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’okusiima n’atandika Radio CBS n’agiwa n’emiramwa egitunuulira obutereevu obulamu bw’abantu.

Ssaabasumba akiikiriddwa Vicar General omuwummuze Msgr. Charles Kasibante.

Omulimu gw’okumaliriza waadi mu ddwaliro lye Nkozi, omunajjanjabirwa abagudde ku bubenje,  gutuuse ku mwaliiro ogusooka nga gukyetaaga ensimbi obuwumbi 4 n’obukadde 900 okumaliriza omulimu gwonna.

Mu nteekateeka eno, Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu CBS,  ng’ekolagana ne bannamikago okuli aba Rotary, Centenary Bank n’abalala bulangiridde obutassa mukono mu kutumbula ebyobulamu mu bantu.

Mu nteekateeka eno mulimu okukubiriza abantu okusonda ensimbi okuva mu bannauganda abali munda mu Uganda n’ebweru, nga baweereza ensimbi buli zabeera asobodde okuyita ku CENTENARY ACCOUNT; 3200665322, ne MTN MOMO 721827, saako okwetaba ku kijjulo kya Kaliisoliiso Dinner Concert nga 3 October,2025 ng’abantu bagula emmeeza n’okuyingira kinnoomu. 

Mulimu emmeeza ez’obukadde 20, obukadde 10, obukadde 5, obukadde 3 ne Ticket y’emitwalo 300,000/=.

Ktaikkiro yebazizza Radio ya Beene CBS okukulemberamu olutalo lwÓkusitula eby’obulamu byÁbantu, ng’eyita mu kusonda ensimbi okuzimba awajjanjabirwa ababa bagudde ku bubenje mu ddwaliro e Nkozi.

Ssabasumba wÉssaza lye Kampala,Ssemoogerere ng’akiikiriddwa Munsinnya Charles Kasibante, agambye nti okusoosowaza ebyÓbulamu mu Eklezia yeemu ku ntekateeka ezassibwaako essira, naasaba abavujjirizi  abenjawulo okwongera okubakwasizaako.

Omumyuuka owookubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa, enteekateeka eno tegenda kukoma kukuzimba kifo ewajjanjabirwa abagudde ku bubenje, wabula mulimu n’okukubiriza abantu bonna okukoma ku bagoba b’ebidduka abavugisa ekimama.

Owek Nsibirwa yeebazizza abaddukanya Hotel Africana mu Kampala, olw’okuwaayo ekifo kino kibeemu Ekijjulo kya Kalisoliiso awatali kusasula nsimbi yonna.

Ssenkulu wa Radio  CBS, Omuk. Michael Kawooya Mwebe agambye nti enkola y’okukubiriza abantu okudduukirira omulimu guno okuyita mu nkola ya  Crowd funding ne Go fund me okugenda ku masundiro gÁmafuta, Amasomero, Amatendekero nÁmasinzizo n’awalala byakuyambako okutuukiriza enteekateeka eno.

District Guvnor owa Rotary eya 9213, Martin Kitaakule, agambye nti ng’ogyeko obuvujjirizi obwensimbi, Banna Rotary bakwongera okusaggula abavujjirizi abenjawulo, okulaba nga omulimu guno guggwa.

Mu balala abeeyunze ku kyeggulo kya Kalisoliiso mubaddemu omukutu gwÉbyempuliziganya ogwa MTN Uganda, BBS Terefayina, Cantenary Bank, Majestic Brands naabalala bangi.

 

Bisakiddwa: Kato Denis

Exit mobile version