Government ya Uganda etaddeyo okusaba eri parliament, ekkirizibwe okwewola ensimbi shilling eziwera trillion 7 n’obuwumbi 140 okubaako emirimu gyekola.
Trillion 4 n’obuwumbi 629 zigenda kwewolebwa okuva mu kitongole ki International Development Association ekya Bank y’ensi yonna, wabula ng’emirimu gyezigenda okukola teginalambululwa bulungi.
Governmrnt era egenda kwewola trillion 1 n’obuwumbi 703 okuva mu CITI bank eya America, nga kuliko Obuwumbi 776 ezigenda okuvugirira emirimu egikwata ku byobulomi omuli okukulakulanya obutale,okwogera omutindo ku birimibwa n’ebirala
Songa obuwumbi 926 zigenda kuzimba luguudo lwa Jinja-Mbulamuti-Kamuli-Bukungu oluweza obuwanvu bwa kilometer 127.
Trillion endala emu n’obuwumbi 382 zigenda kwewolebwa okuva mu Standard Chartered Bank okuzimba layini y’amasanyalaze eya Karuma-Tororo.
Obuwumbi obulala 426 bugenda kwewolebwa mu bank yeemu eno eya Standard Chartered Bank okubaako enguudo ezikolebwa mu bitundu bye Hoima ewassimwa amafuta.
Okusaba kuno kusuubirwa okwanjulibwa mu butongole eri parliament wiiki ejja ng’ennaku z’omwezi 20 October,2025 mu lutuula lwa parliament oluyitiddwa.
Uganda werutuukidde olwaleero ng’ebangibwa trillion 115, nga buli munnansi ebibalo biraga nti buli munnansi abanjibwa obukadde 2 nekitundu, singa yaaba agenda okuzisasula mu nsawo ye.#