Ttiimu y’essaza Gomba ewezezza emipiira 4 ng’obuwanguzi bukyagyesaambye, mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere 2025 , bwegudde amaliri ga 0-0 ne Buluuli mu kisaawe e Kabulasoke.
Wabula mu mupiira guno Gomba efunye peneti naye n’egaana okunywa.
Gomba kati efunye akabonero akasoose mu mipiira 4 gyeyakazannya mu mpaka ez’omwaka guno, ng’emipiira emipiira gyonna 3 egyasooka yakubwa.
Ssingo nayo efunye obuwanguzi obusoose bwekubye Kkooki goolo 3-0 e Mityana.
Kyaggwe egudde maliri ne Butambala goolo 1-1 e Mukono, kyokka omupiira guno nga guwedde abawagizi ba Kyaggwe basiwuuse empisa nebatuuka n’okugwa baddifiri mu malaka.
Bugerere nayo ekubye Mawokota goolo 1-0 e Ntenjeru, Buddu egudde maliri ne Busujju e Masaka, ate nga ne Bulemeezi efunye obuwanguzi obusoose bwekubye Buvuma goolo 1-0 e Kasana Luweero.
webutuukidde leero nga 20 July,2025, buli ssaza lya kazannya emipiira 4 mu kibinja.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe