President wa Alliance for National Transformation ANT, Maj.Gen. Mugisha Muntu azzizaayo empapula ezisaba okuweebwa kaadi avuganye ku bwa president bwa Uganda mu kalulu akajja 2026.
Empapula azitutte ku kitebe kya ANT e Bukoto mu Kampala era naweebwa kaadi emukakasa.
Mugisha muntu agambye nti ANT erina entegeragama gyeyatuukako ne PFF, era nga kati bakyayogeraganya ne NUP balabe oba nga basobola okusimbawo omuntu omu era gwebanaawagira ku bwa president.
Mu ngeri yeemu ssentebe w’akakiiko ke byokulonda mu ANT Bakaki Mugarura ategeezezza nti ku mulundi guno abantu bangi baggyeyo n’okuzaayo empapula mu kibiina, okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo, akabonero akalaga nti ekibiina kiguundidde.#