spot_imgspot_imgspot_imgspot_img

Fire Guts School Dormitory In Mpigi

spot_imgspot_imgspot_imgspot_img

Date:

Ekisulo ky’abayizi abalenzi ku ssomero lya Wamatovu Umea Secondary school e Nakirebe mu ggombolola ye Kiringente mu district ye Mpigi kikutte omuliro nekibengeya.

Essaawa zibadde zikunukkiriza okuwera esatu ez’ekiro kya nga 12 November, ekisulo nekikwata omuliro era tewali kintu kyonna kitaasiddwa. Emmotoka z’abazinnya mwoto wezituukidde ng’ekizimbe kiguddemu.

Omu ku batandisi b’essomero lino Ssenono Faisal Zzaake agambye nti ekisulo kino kibadde kisulako abayizi bonna abalenzi okuva ku S.1 – S.6, era nga basigazza bitabo byokka ne uniform zebabaddemu mu bibiina mu kusoma okw’ekiro (preps).

Ekivuddeko omuliro tekinamanyika, wadde ng’ekisulo kino kibadde kyakira ku masannyalaze g’amaanyi g’enjuba.

spot_imgspot_imgspot_imgspot_img

Share post:

spot_imgspot_imgspot_imgspot_img

POPULAR

ALSO READ

Court Adjourns Nyanjura’s Case Of Becoming A Common Nuisance

The common nuisance case against five Forum for Democratic...

Uganda Marks The International Quds Day At Kampala University’s Ggaba Campus

This event was organized by Cultural Consulate of the...

I Now Sell “My Sumbie” In A Diplomatic Way – Bad Black

Kampala socialite Shanitah Namuyimbwa commonly known as Bad Black,...