FDC ereese Nathan Nandala Mafaabi okuvuganya ku bwa president bw Uganda 2026 – bagala buli munnauganda abeere ng’asobola okubeera n’ensimbi mu nsawo

Date:

Kyadaaki olukiiko lw’abakadde abeebuzibwako ensonga mu kibiina ki FDC  lukkaanyisizza ababadde balwanira okukwatira ekibiina kya FDC bendera kubwa president bwa Uganda,  nebasalawo eweebwe Nathan Nandala Mafaabi.

Embiranye y’okweyagaliza bendera ebadde wakati wa president wa FDC Eng Patrick Amuriat Oboi, ne Ssaabawandiisi w’ekibiina Nathan Nandala Mafaabi.

 Eng Patrick Amuriat Oboi yeyakwatira FDC bendera naavuganya ku bwa president mu kalulu ka 202,  era yafuna obululu emitwalo asatu mwesatu mu kasanvu (337,000).

Ku mulundi guni abakadde abeebuzibwako ensonga mu FDC basabye Amuriat addeko ebbali alekere Nandala.

 

FDC ezze esaanga okusoomozebwa okwenjawulo mu by’obukulembeze bwayo, omuli nebigambibwa nti NRM yeyassa ensimbi mu Eng.Patrick Amuriat avuganye ku bwa president mu kalulu ka 2021, nekigendererwa eky’okukendeeza ku bululu bwa Robert Kyagulanyi owa NUP eyali asiinga amaanyi ku ludda oluvuganya government.

Okuva mu kalulu ka 2016 ebibiina 2 eby’amaanyi byebyakamerukawo, nga bitandikibwawo ba memba abaamaanyi okuva mu FDC, omuli ekya ANT ne PFF.

Mu kiseera kino FDC egamba nti essira egenda kukulissa ku nsonga y’okulaba nga bannauganda bakulaakulana  nga babeera n’ensimbi mu nsawo, era gwemulamwa kwebagenda okutambuliza kakuyege wabwe mu kalulu k’eggwanga aka 2026.#

Share post:

Popular

Also Read

Cross Switch unveils new brand and website to support expansion across emerging markets

Cape Town, South Africa  – Cross Switch, a global payment...

National E-Mobility Expo Launched, Set for Sept. 18-19 in Uganda

KAMPALA, Uganda – Uganda is set to host its second...

Khalid Aucho Captain wa Uganda Cranes ayabulidde Yanga Africans eya Tanzania – CBS FM

  Captain wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes,...

Museveni, Ruto Deepen Kenya-Uganda Ties with Eight New Deals in Trade, Transport, and Cross-Border Infrastructure

NAIROBI, KENYA — Kenyan President William Ruto and Ugandan...
Verified by MonsterInsights