Ekibiina ky’ebyobufuzi ki Forum for Democratic Change FDC kitenderezza eyaliko omumyuka wa ssentebe w’ekibiina mu Bugwanjuba bwa Uganda omugenzi Baguma Jolly Patrick Ateenyi, nti yakola kinene nnyo okulwanirira obw’enkanya n’enkyuukakyuuka egasa bannansi nti naye kyannaku nti afudde talabye ku nsi nsuubize.
Omugenzi Baguma Patrick Ateenyi afiiridde mu kabenje mu kiro ekikeesezza olwa Saturday nga 19 July,2025 ku luguudo lwa Northern By pass e Busega mu Kampala.
Amyuuka omwogezi wa FDC mu ggwanga Mulindwa Warid Lubega agambye nti oludda oluvuganya government lufiiriddwa nnyo munnankyuuka ate ayagala ensi, era nti yakola kinene nnyo okubagattako bannankyuukakyuuka abalala naddala okuva mu bitundu by’e Bunyoro.
Omugenzi wakuziikibwa mu district ye Hoima ku bbaraza nga 21 July, 2025 ku kyalo Katasiha.