Wabaddewo okuluma obugigi mu kubala obululu bw’okulonda ku kifo kya ssentebe w’abakyala ba NRM, abamu ku babadde besimbyewo bwebadduse mu kalulu ku ssaawa esembayo nga bali mu layini, oluvannyuma lwokulaba layini zaabwe nga ntono nnyo.
Okulonda kuno kubumbujjira mu kisaawe e Kololo.
Ekifo kya sentebe w’abakyala kibadde kivuganyizibwako abakyala abawerako okubadde ssentebe abaddeko Farida Kibowa saako Lydia Wanyoto, Kobusingye Adrine n’abalala.
Akulira ebyokulonda mu NRM Dr Tanga Odoi essaawa y’okulonda bwetuuse n’alagira abakyala basimbe mu migongo gyabesimbyewo, kyokka omu ku babadde bavuganya mu kalulu kano Lydia Wanyoto bwalabye nga abawagizi be baamuswaba abali ku layini, avudde mu kalulu n’abalagira basimbe ku layini ya Hajjat Farida Kibowa.
Waliwo n’omukyala omulala naye alabye nga abamusimbyeko batono kwekudduka mu kalulu kano.
Okulonda kugenze okuggwa nga Adrine Kobusingye awangudde afunye obululu 1,838 ate Farida Kibowa bwebabadde ku mbiranye afunye obululu 670.#