Eyaliko omwami wa Kabaka owéssaza Kyaddondo Kaggo Ttofiri Kivumbi Malookweza, Mukama amujjuludde ku myaka 96 egyóbukulu, ng’abadde abuzaayo onwezi gumu okuweza 97.
Ttofiri Malookweza afiiridde mu makaage e Kazo mu Kyaddondo, abadde yebase wakati mu kire kyénkuba etonnye awo mu budde obwámalya gékyemisana nga 16 August,2025.
Owek.Ttofiri Kivumbi Malookweza yaweereza ng’omwami w’essaza Kyadondo okuva mu 1994 okutuuka mu 2013.
Owek Malokweza ajjukirwa nnyo ngómu ku baweereza b’Obwakabaka abaasookera ddala ngÓbwakabaka bwakazzibwawo mu 1993, era yasima omusingi gw’obukulembeze essaza eryo kwe litambulira.
Ngóggyyeeko okuweereza obwakabaka Owek Ttofiri Malokweza abadde mukulembeze mu eklezia Katolika, yaweebwa nékitiibwa ekyóbusirikale bwa Paapa.
Omwami wa Kabaka Owéssaza Kyaddondo aliko kati Kaggo Hajji Muhammad Magandaazi Matovu, akungubagidde omugenzi Malokweza gwágambye nti baamuyigirako bingi ebibayambye okutambuza essaza lino.
Ajjukizza nti Omugenzi abadde nómwoyo gwa Buganda ogutafa, nti era bwe yakwasibwa essaza yasooka kukoleranga mu muti, oluvannyuma náteekawo weema, ngábakulembeze ba government eyawakati bagaanidde mu bizimbe bya Buganda.
Mu mwaka 2021, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima emirimu gyeyamuweereza, naamuwa ejjinja ery’omuwendo.
Minisita wa Buganda owa government ezébitundu Owek Joseph Kawuki, yebazizza Omugenzi olwokubeera Omumuli mu buweereza bwa government ez’ebitundu, n’Okwagala essaza Kyaddondo.#