Okusika omuguwa mu kibiina ki Uganda Peoples’ Congress zongedde okusajjuka, ekiwayi kya munnamaeeka Peter Walubiri agaamba nti ye President w’ekibiina kino omutuufu kiwandiikiddde akakiiko k’eggwanga ak’ebyokulonda kagobe okusaba kwa Dennis Adim Enapu eyeyanjuddeyo nga president w’ekibiina kino Omuggya
Oluvanyuma lwa Koooti okusazaamu okulondebwa kwa Jimmy James Akena kubwa president bwekibiina kino ku kisanja ekyokusatu,ba memba babakiiko ka UPC akebyokulonda 3 okuli Naume Natukunda, Jack Habusi ne Magero Emmanuel Mere bawandiikidde akakiiko kebyokulonda nga bakanjulira Dennis Adim Enapu nga president w’ekibiina omulonde
Wabula Jimmy Akena akyakalambidde agamba nti yakyali president wa UPC, era abasatu abo yabafuumudde ku bukulu bwebabaddeko ng’abalanga kyeyayise okuseketerera ekibiina n’okweeyisa ng’ekitagasa.
Bibadde biri bityo ne Peter Walubiri naasitula enkuundi ng’agamba nti Jimmy Akena ne Deniss Adim Enap tekuliiko president wa UPC mutuufu , President wa UPC omutuufu ye munnamateeka Peter Walubiri era akola butaweeera okutereeza ekibiina.
Walubiri agambye nti Jimmy Akena ne Dennis’ Adim Enap babadde bakola bombi okuvuluga ekibiina era ebizibu byonna ekibiina byekirimu babadde babikola bonna.
Wabula ye Dennis Adim Enapu naye akalambidde nti ye President wa UPC omutuufu.
Omwogezi wakakiiko keggwanga akebyokulonda Julius Mucunguzi agambye nti ensonga z’okugugululana okuli mu UPC abakulu mu kakiiko k’ebyokulonda tebalina kyebasobola kuzikolako, nabawa amagezi nti betereeze bbo nga bannaUPC .#