Emmotoka ya Minister omubeezi ow’abavubuka n’abaana Balaam Barugahara Ateenyi esaabadde omugoba wa bodaboda e Kagadi naafiirawo, mu gombolola ye Kyomukama mu district ye Kagadi.
Mu mmotoka minister ababaddemu n’abantu abalala babadde boolekera ekibuga Fort Portal mu Bukama bwa Tooro okwetaba mu Ttabamiruka w’abavubuka.
Okusinziira ku minister Balaam, omugoba wa bodaboda ayingidde oluguudo omulundi gumu ng’ava ku luuyi olulala, era nga kibadde kizibu omugoba wa mmotoka mwebabadde okumutaasa.