Kuliko abatalina biwandiiko bya senior ya mukaaga, abalina obuyigirize bwebaasomera ebweru w’eggwanga obugambibwa nti bwenkanankana ne senior eyomukaaga eya Uganda, saako abalina obuyigirize obw’emitendera egyenjawulo obugambibwa nti bwebugattibwa bwenkanankana ne senior eyomukaaga eya Uganda.
Ssemateeka w’eggwanga n’amateeka agakwata ku kulondebwa kwa president, ababaka ba parliament, ba ssentebe ba districts neba meeya b’ebibuga saako munisipaali, bassibwako obuyigirize obwessalira, bwa senior eyomukaaga.
Omuntu okwesimbawo alina okutwala obujjulizi eri akakiiko kebyokulonda okukakasa nti ekituufu yasoma era nafuna obuyigize obwa senior ey’omukaaga.
Omwogezi w’akakiiko kebyokonda Julius Muchunguzi agambye nti abo bokka abalina certificate eya senior eyomukaaga bebateetaaga kugenda eri National council for Higher education.
Abalina empapula ezokugatta nezokunyonyolera ennyo, balina okugenda mu National council for Higher education batereeze ensonga ezo.
Akakiiko k’ebyokulonda kalabudde nti certificate ezaakozesebwa mu kulonda kw’omwaka 2021,tezikyalola ,buli ayagala okwesimbawo nga talina senior ya mukaaga adduke mangu afune certificate empya.
Okusinziira ku kakiiko kebyokulonda, tewali munnabyabufuzi aggya kusunsulibwa akakiiko nga tatuukiriza obukwakulizo obwo
Okusinziira ku tteeka erifuga akakiiko kebyokulonda, certificate ezo zirina okutwalibwa eri akakiiko kebyolonda nga wabula ebbanga lya myezi 2 okusunsula abeesimbyeewo kutandiike
Kkooti enfunda eziwerako zize zisazaamu obuwanguzi bwa bannabyabufuzi okuli ababaka ba parliament, ba ssentebe ba districts nabalala olwokubulwa obuyigirize obwessalira obulambikiddwa mu tteeka.#