Okutongoza ekizimbe Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II A Level Complex ku St.Peter’s Bombo Kalule kyekigguddewo ebijaguzo by’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwe 70.
Ssaabasajja Kabaka mu bubaka bwatisse Nnaalinnya Victoria Nkiinzi ku mikolo gy’okuggulawo ekizimbe, yebazizza Katonda olw’obulamu bwamuwadde obw’ebibala naddala okutambulira mu buwuufu obw’okusitula ebyenjigiriza.
Ssaabasajja yebazizza Omulangira Mulondo olw’okukulaakulanya essomero eryamuweebwa Radio y’Obwakabaka, bweyawangula empaka z’olulimi Oluganda mu ppulogulaamu Entanda ya Buganda mu mwaka 2009.


Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akinogaanyizza nti Obwakabaka bwa Buganda butadde nnyo essira mu kusitula Omutindo gw’ebyenjigiriza.


Omutandisi w’Essomero St Peters SS Bombo Kalule era Omwami wa Kabaka akulembera essaza Bulemeezi Kangaawo Omulangira Ronald Mulondo yebazizza Beene olw’Okusiima nabbula erinnya lye mu kizimbe, ekifudde essomero lino eryenjawulo.

Omukolo guno gutandise nakusimba miti ku ssomero nga kukulembeddwamu Nnaalinnya Victoria Nkinzi.
Gwetabiddwako Nnaalinnya Agnes Nnabaloga , Abalangira n’Abambejja , Omumyuka owookubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule ne ba minister ba Kabaka abaliko n’abaawummula, Bannaddiini, bannabyabufuzi, Abakulira ebyenjigiriza ku mitendera egyenjawulo n’Abantu ba Kabaka abalala bangi.