Bannabyamizannyo abenjawulo bewangulidde ebirabo, fayinolo wa Bbingwa 2025, ayindira mu kisaawe kya Kasana Nyendo Masaka.
Ebibiinja ebyenjawulo bisaambye omupiira ogw’omukwano, ogulimu n’okuwangula ebirabo.
Abawagizi ba Man-U bawangudde abawagizi ba Arsenal mu mupiira gwa Bbingwa w’ebyemizannyo, ogunyumidde mu kisaawe e Kasana mu Nyendo, ku ggoolo 3-2.
Goolo zibadde zakusimulagana ppeneti oluvannyuma lw’okukomekerezebwa 1-1 mu ddakiika e90.
Mu mupiira omulala abavuzi ba Bodabooda bawangudde bamakanika, ku ggoolo 2-1.
Abavajjirizi aba MTN Uganda bawadde abawanguzi aba bodaboda akakadde ka shs kalamba.

Omupiira wakati w’abaweereza ba CBS n’Abasosolodooti b’e Masaka gweguliko.


Empaka z’okuddaamu ebibuuzo by’emizannyo okufunako Bbingwa wa 2025.m zezigenda okusembayo.#