Ekibinja kyÁbakyala 9 okuva mu Bwakabaka bwa Buganda batuuse e Sweden okwetaba mu lukuηaana olwenjawulo olwatuumwa Buganda Day 2025.
Minister wa Bulungibwansi, Obutondebwensi , Amazzi nÉkikula kyÁbantu mu Bwakabaka Owek Hajjat Mariam Mayanja Nassejje yakulembeddemu Abakyala ba Buganda, nga amyukibwa Dr Sarah Nkonge Muwonge ssentebe wa Ttabamiruka wÁbakyaala mu Bwakabaka nÓmuzaana Kimbugwe Agnes ssentebe wÁbakyaala abakulembeze mu Masaza ga Buganda.
E Sweden baaniriziddwa Omwami wa Kabaka atwala essaza lye Scandnavia Owek Nelson Mugenyi, Ssentebe wa Kabaka Foundation owe Scandnavia Omukungu Godfrey Sseruwu nÁbantu abalala bangi.
Olukuηaana luno lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti Enkulaakulana yÁbakyaala nÁbaana, n’okukuuma Óbutondebwensi.
Mu ngeri yeemu essaza lya Kabaka erye Rhinelands libangudde abaana Abaganda ku buwangwa nÉnnono, nga kino kigendereddwaamu okubamanyisa gyebasibuka.
Mu nkola gyebatuumye ekisaakaate, mwebasinzidde ne babangula abaana ku bikwata ku buwangwa bw’abwe,nga bayita mu Mizannyo, Engero , Okukoca nÓkutekateeka emmere Ennansi , omubadde nÓkutendekebwa Amazina agekinnansi, nga bino bibadde mu kibuga Eindhoven ekya Budaaki.
OwÁbakyaala ku lukiiko lw’essaza Rhinelands Margret Nakidde Vorstenbosh ne Bba mwami we Piere beebazizza abantu ba Kabaka abawaddeyo Abaana okusomesebwa ku Buwangwa nÉnnono.
Omwaka ogujja 2026 e Ssaza Rhinelands lyakuteekateeka ttabamiruka wa Buganda Bumu European Convention mu kibuga Berline ekya Germany.
Olukuηaana luno werunaatuukira nga abaana abato n’abavubuka Abaganda, baliko bye bamanyi ebikwata ku buwangwa bwabwe.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Rhinelands Owek Sam Ssekajugo,agambye nti entekateeka zÓkuwandiisa abantu ba Kabaka abaneetaba mu ttabamiruka ono zitandise.
Bisakiddwa: Kato Denis