Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule mu butongole agguddewo eddwaliro lya Buganda erya Muteesa II Health Centre IV e Busimbi mu ssaza Ssingo okutandika okujjanjaba abantu ba Kabaka.
Eddwaliro lino ligenda kuddukanyizibwa Mengo Hospital.
Obuweereza bwerisookeddeko mulimu okuwa abakyala ab’embuto eddagala n’okubajjanjaba, okukebera n’okujjanjaba amaaso, amannyo n’ebirala.
Ssaabasajja yasiima eddwaliro ino lizimbibwe okuwa abantu obuweereza bw’ebyobulamu nga bubali kumpi ate nga sibwabuseere, songa bwamutindo ddala.
Owek. Mugumbule mu kuggulawo eddwaliro lino abadde bumu ne minister w’Enkulaakulana y’abantu omugwa ebyobulamu Owek. Chotilida Nakate Kikomeko, Minister wa government ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki, Omukubiriza w’Olukiiko Lw’abataka Omut. Augutine Kizito Mutumba n’abakungu b’eddwaliro ly’e Mengo.#