Ebya ttiimu y’essaza Buddu okuva mu kibinja mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira omwaka guno 2025, byongedde okusanyalala bwekubiddwa Busiro goolo 1-0 mu kisaawe kya Kitovu Arena e Masaka.
Buddu kati esigaza emipiira 2 okumalako ekibinja, kyokka yetaaga okuwangula gyonna okutangaza emikisa egy’okuva mu kibinja.
Mu kibinja kye kimu Busujju egudde maliri ne Buluuli e Kakindu 0-0.
Buluuli ekikulembedde n’obubonero 15, Busujju yakubiri n’obubonero 15.
Ssese yakusatu n’obubonero 12, Buddu ya 4 n’obubonero 09, Busiro ya 5 n’obubonero 08 ate nga Gomba esembye n’obubonero 6.
Kyadondo ekubye Buvuma goolo 5-0 e Nakivubo, Bugerere ekubye Buweekula goolo 2-1 e Ntenjeru, ate Mawokota ekubye Bulemeezi goolo 1-0 e Buwama.
Ssingo egudde maliri ne Butambala goolo 1-1 e Mityana, wabula omupiira guno teguwedde olwa Butambala okuwakanya ennamula ya ddifiri, nga balumiriza nti Ssingo eteebye goolo ey’ekyenkanyi nga mu kisaawe mulimu emipiira 3.
Kyaggwe ekubye Mawogola goolo 1-0 mu kisaawe e Mukono.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

