Ebibiina by’obufuzi bisisinkanye okusalawo ku biseera bya IPOD ebijja – CBS FM

Date:

Ba ssaabawandiisi b’ebibiina byobufuzi ebirina obwa memba mu mukago gwa IPOD batudde mu nsisinkano eyenjawulo, ne Ssaabawolereza  wa government saako minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi okulambika enteekateeka y’emirimu gy’omukago egy’emyaka 5 egijja.

Ensisinkano eno etudde mu kibuga Entebbe.

Ensonga enkulu ezigenda okwogerwako tukitegedde nti kuliko okuyisa  enteekateeka nnamutayiika omukago guno kwegugenda okutambuliza emirimu gyaagwo emyaka etaano egijja,  oluvanyuma lwa parliament okufuula Omukago guno oguliwo mu mateeka era government gwerina okuvugirira.

Ensonga endala egenda okwogerwako mu nsisinkano eno era ensonda zibuulidde CBS radio, nti yeyokulambika minister wa ssemateeka n’essiga edddamuzi, ku nkola erina okugobererwa ku ngabanya y’ensimbi government zeewa  ebibiina byobufuzi ebirina ababaka mu parliament.

Etteeka erifuga ebibiina byobufuzi parliament lyeyakolamu ennongosereza gyebuvuddeko, lyakifuula kyabuwaze nti ebibiina byokka ebirina obwa memba mu IPOD byebiggya okuweebwa ensimbi okuva mu government.

Gyebubuddeko ministry y’ebyensimbi yawaayo obuwumbi bwa shs 11.25b eri akakiiko k’ebyokulonda, ezigenda okugabanyizibwa ebibiina by’ebyobufuzi nga bigenda mu kulonda kwa 2026.

Wabula minister w’ebyamateeka n’essiga eddamuzi wakusooka kuwa nnambika ku nsimbi zino gyezirina okugabanyizibwa nga zesigamizibwa ku tteeka lya IPOD eppya.

Ba Ssabawandiisi bebibiina abatudde  mu nsisinkano eno, bava mu bibiina 6 nga bino byebyakola endagaano okukolera awamu ne IPOD okuli NRM, DP, UPC, PPP, FDC ne Jeema.

Ekibiina kya NUP wadde kibadde kifuna ensimbi okuva mu government, olw’okuba n’ababaka mu parliament naye kyaali kyalangirira  nti SSI kyakwegatta ku mukago gwa IPOD. Wabula tekinavaayo kutegeeza oba nga  kinagenda mu maaso n’okusalawo okwo, kubanga kyolekedde okufiirwa ensimbi ezo zekibadde kifuna singa kigaana okufuuka memba.

CBS ekitegeddeko nti ensisinkano eno egenda kusalawo n’okuteekateeka ensisinkano y’abakulembeze b’ebibiina bino esuubirwa okutuula mu wiiki esooka eyomwezi ogujja ogwa September,2025 era esuubirwa okutuula mu kisaawe e Kololo.#

Share post:

Popular

Also Read

MARU Credit celebrates successful partnership with Uganda Golf – Xclusive UG.

Kampala, Uganda – MARU Credit, together with Uganda Golf...

MARU Credit celebrates successful partnership with Uganda Golf

Kampala, Uganda – MARU Credit, together with Uganda Golf...

Martha Mukisa Shares How Motherhood Inspired a New Chapter in Her Music Journey

Black Magic Entertainment singer Martha Mukisa has opened up about...

Trio impersonating anti-corruption officials arrested in scam targeting Jinja pastor

KAMPALA, Uganda — Three men were arrested Monday after...