Dennis Onyango akomyewo ku ttiimu ya Uganda Cranes – yetegekera zakusunsulamu abanetaba mu World cup 2026 – CBS FM

Date:

Eyaliko captain wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, omukwasi wa goolo Dennis Masinde Onyango, akomyewo ku ttiimu eno okuva mu luwumula lw’abadde amazemu ebbanga lya myaka 4.

Dennis Onyango ng’omupiira ogw’ensimbi agucangira mu club ya Mamerodi Sundowns eya South Africa, yoomu ku bazannyi 28 abayitiddwa okwetegekera okuzannya ne Somali ne Mozambique mu mpaka za FIFA World Cup Qualifiers ez’omwaka 2026.

Omutendesi wa Uganda Cranes Paul Joseph Put, yalangiridde ttiimu eno ku kitebe kya FUFA e Mengo mu Kampala.

 

Dennis Onyango yoomu ku bakwasi ba goolo 4 abayitiddwa, abalala ye Salim Jamal Magoola nga naye abadde aludde okulabikira ku ttiimu eno, nga yasemba mu 2023, era azannyira mu club ya Richard Bay e South Africa.

Abalala ye Alionzi Nafian azannyira mu club ya Defense Forces eya Ethiopia ne Joel Mutakubwa azannyira mu club ya BUL eya Uganda.

Abazannyi abalala abayitiddwa ye Elvis Bwomono azannyira mu Iceland, Bockhorn Herbert azannyira e Germany, Elio Capradossi azannyira e Romania, Ddembe John Paul azannyira e Sweden, Ronald Ssekiganda  ne Dennis Omdei abazannyira mu APR e Rwanda.

Azizi Kayondo, Rogers Mato, Regan Mpande, Joseph Mpande, Allan Okello, Joel Sserunjogi, Travis Mutyaba, Hilary Mukundane, Patrick Jonah Kakande, Abdul Karim Watambala nabalala bayitiddwa.

Abazannyi 11 ku bazannyi 28 abayitiddwa bakiikiridde Uganda Cranes mu mpaka za CHAN ezikyagenda mu maaso mu Uganda, Kenya ne Tanzania.

Uganda Cranes egenda kuzannya ne Mozambique nga 05 omwezi ogujja ogwa September,2025 mu kisaawe e Namboole.

Nga 08 September,2025 Uganda Cranes era yakuzannya ne Somalia mu kisaawe e Namboole, ng’emipiira gyonna gyakuzannyibwa ku ssaawa 1 eyakawungezi.

Mu mpaka za FIFA World Cup Qualifiers, Uganda Cranes eri mu kibinja G, nga Algeria ekikulembedde n’obubonero 15, Mozambique yakubiri n’obubonero 12, Botswana yakusatu n’obubonero 9, Uganda yakuna n’obubonero 9, Guinea yakutaano n’obubonero 7 ate nga Somalia yesembye erina akabonero 1.

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

Share post:

Popular

Also Read

Eddy Kenzo Confirms Return to UNMF Leadership After Says The Federation Issues Have Been Resolved

Musician Eddy Kenzo has retracted his statement about retiring,...

Ugandan Parliament Honors Late Kenyan Political Giant Raila Odinga

KAMPALA, Uganda (AP) — Ugandan lawmakers paid tribute Monday...

Ugandan Legislators Renew Calls to Address Teachers’ Pay Disparities

KAMPALA — Ugandan lawmakers are urging the government...

Museveni Urges Patience on Public Pay Raises, Citing Infrastructure as Priority

ADJUMANI – President Yoweri Museveni reaffirmed his government’s commitment...