Buluuli erangiridde Noah Mugerwa ng’omutendesi omuggya – akomyewo mulundi gwakubiri – CBS FM

Date:

 

Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Buluuli lukakasiza Noah Mugerwa nga omutendesi omugya ow’essaza lino, okudda mu bigere bya Mukasa Nasibu eyagenze e Gomba.

 

Noah Mugerwa mu kiseera kino era ye mutendesi wa club eya Bunyaruguru United okuva mu Lubirizi district, era nga yakamala n’okugisumusa okugenda mu kibinja kya Big League.

 

Noah Mugerwa ku Ssaza Buluuli azeeyo omulundi ogw’okubiri, wabula era atendeseko amasaza amalala okuli Butambala, Buddu, Busiro, Ssingo, Kyadondo ne Kabula.

 

Buluuli yakakunganya obubonero 4 mu mipiira 3 mu mpaka za Masaza ez’omwaka guno.

 

Egenda kuzaako okukyalira Gomba mu kisaawe e Kabulasoke ku Sunday  nga 20 July.

 

Buluuli yakawangula ekikopo kya Masaza omulundi gumu mu 2011 lwe bakuba Bulemeezi goolo 2-1 mu kisaawe e Nakivubo.

 

Buluuli mu mpaka z’omwaka guno 2025 eri mu kibinja Bulange ne Buddu, Gomba, Busiro, Ssese ne Busujju.

 

Bisakiddwa: Isah Kimbugwe

Share post:

Popular

Also Read

Vibe House Officially Opens in Kampala, Redefining Lifestyle and Entertainment Experiences

Kampala’s entertainment and lifestyle scene has welcomed a bold...

Spice Diana Confiscates Event Equipment Over Unpaid Performance Balance

Singer Spice Diana, real name Namukwaya Hajara Diana, last...

The Alchemist’s Gavel: Industrialisation, value addition, and Uganda’s economic awakening

By Asiimwe Jonard “The person who eats the grain before...

Vibe House debuts in Kampala – Xclusive News

Kampala’s ever-evolving social scene has a new heartbeat, and...