Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Buluuli lukakasiza Noah Mugerwa nga omutendesi omugya ow’essaza lino, okudda mu bigere bya Mukasa Nasibu eyagenze e Gomba.
Noah Mugerwa mu kiseera kino era ye mutendesi wa club eya Bunyaruguru United okuva mu Lubirizi district, era nga yakamala n’okugisumusa okugenda mu kibinja kya Big League.
Noah Mugerwa ku Ssaza Buluuli azeeyo omulundi ogw’okubiri, wabula era atendeseko amasaza amalala okuli Butambala, Buddu, Busiro, Ssingo, Kyadondo ne Kabula.
Buluuli yakakunganya obubonero 4 mu mipiira 3 mu mpaka za Masaza ez’omwaka guno.
Egenda kuzaako okukyalira Gomba mu kisaawe e Kabulasoke ku Sunday nga 20 July.
Buluuli yakawangula ekikopo kya Masaza omulundi gumu mu 2011 lwe bakuba Bulemeezi goolo 2-1 mu kisaawe e Nakivubo.
Buluuli mu mpaka z’omwaka guno 2025 eri mu kibinja Bulange ne Buddu, Gomba, Busiro, Ssese ne Busujju.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe