Buganda etaangaazizza ku by’emmotoka government zeyawadde abakulembeze bw’ennono – ensimbi enkalu ezoogerwako nazo tenazifuna – CBS FM

Date:

Obwakabaka bwa Buganda butegeezezza nti tebunaweebwa nsimbi nkalu okuva mu ministry y’ekikula ky’abantu mu government, ezigambibwa zezaakkanyizibwako okubuwa mu kifo ky’emmotoka eziweebwa abakulembeze b’ennono mu Uganda.

Government eyawakati yagabidde abakulembeze b’ennono 15 emmotoka kapyata 2 buli omu, ku mukolo ogwabadde ku kisaawe e Kololo, saako ne sente enkalu ezirina okubaweebwa obukadde 60, n’omusaala ogwa  buli mwezi obukadde 5.

Eno minister w’ekikula ky’abantu Betty Among gyeyategeerezza nti Buganda yo teriiko kubaaweereddwa emmotoka, kubanga nti bakkiriziganya ne government, nti ebaweemu sente enkalu era nayo kyeyakola nebawaamu Cheque.

Wabula minister w’eby’amawulire era omwogezi w’Obwakabaka Israel Kazibwe Kitooke, ategeezezza bannamawulire mu Bulange e Mengo, nti Buganda ensimbi ezo tenazifuna.

Annyonyode nti era minister Betty Among yasisinkana Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga naamwebuzaako ku nsonga ezo, Katikkiro yamutegeeza nti Ssaabasajja Kabaka mu buwangwa tateekeddwa kusasulwa musaala.

Wabula government esobola okukwatizaako Buganda mu mirimu emirala gyonna egigasiza awamu abantu ba Kabaka.

Awadde eky’okulabirako eky’okumaliriza amasiro, okuvugyirira Ttabamiruka w^abakyaka n’abaami, enkungaana z’abavubuka n’ebirala.#

Share post:

Popular

Also Read

Top Executives to Speak at Personal Branding Masterclass in Kampala – UG Standard

Kampala, Uganda: On Friday, 8th August 2025, professionals from across...

Gen. Muhoozi Backs Tumukunde’s 2026 MP Bid, Orders NRM Support in Rukungiri

The Chief of Defence Forces (CDF), General Muhoozi Kainerugaba,...

Over 200 Attend Women-Focused Empowerment Event in Mbarara – Xclusive UG.

In a significant move to champion female employment and...
Verified by MonsterInsights