Ttiimu y’essaza Buddu ekiguddeko mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, Buluuli egirumbye omwayo mu kisaawe kya Kitovu Arena mu kibuga Masaka n’egikubirayo goolo 2-0.
Omwaka buno Buluuli ekubye Buddu ewaka ne kubugenyi, nga omupiira ogwasooka e Migyera, era Buluuli yaguwangula goolo 1-0.
Kakaano Buluuli ekulembedde ekibinja Bulange n’obubonero 11, ate nga Buddu esigadde ku bubonero 08.
Mu kibinja kye kimu Gomba nayo efunye obuwanguzi obusoose mu mpaka zino bwekubye Busiro goolo 2-0 e Kabulasoke, nga Gomba egenze ku bubonero 5 ne basibagana ne Busiro.
Mu kibinja kye Bulange Busujju ekubye Ssese goolo 2-1 mu kisaawe e Kakindu, nga Busujju nayo egenze ku bubonero 11 ate Ssese esigadde ku bubonero 09.
Buweekula erumbye Bulemeezi omwayo mu kisaawe kya Kasana Luweero n’egikubirayo goolo 1-0.
Ssingo nayo ekubye Mawogola goolo 1-0 mu kisaawe e Mityana.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe